Bana bakwatiddwa Poliisi e Kireka lwakukuba nebatta munnansi w’eggwanga lya Sudan.

Josephat Ahimbisibwe amanyiddwa nga Ssekimpi 21, James Okwale 36 amanyiddwa nga Rasta Kigere, Henry Buuti 20 amanyiddwa nga Ipanda ne Abed Tugume 20 bakwatiddwa Poliisi ku bigambibwa nti benyigira mukutta Lam Duot Deng Duot munnansi wa Sudan nga muyizi ku International University of East Africa e Kansanga nga ono yattibwa nga 23-June-2018 e Katooke.

Lam yakubwa abavubuka abaali bakuganya kasasiro ku Dubai Washing Bay nafiirawo nga bagamba nti yali agezezaako okubba omukyala eyali ayonsa ku railway era nga bamulanga okuba omuzi w’emisango mu kitundu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Kkooti ya Buganda Road ezeemu enkya yaleero okuwulira ogwa Bobi Wine