Dr. Kawaase atongozza obukiiko bw’olunaku lwa Buganda kwe kwaffe
Obukiiko obuteekateeka Buganda Kwe Kwaffe ne Xmas Carols butongozebbwa
Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Minisita w’eby’enjigiriza mu bwakabaka, Oweek Dr. Twaha Kigongo Kawaase, atongozza obukiiko obunaateekateeka olunaku lwa Buganda Kwe Kwaffe wamu n’olukiiko olunaateekateeka omukolo gw’ennyimba z’amazaalibwa ( Xmas Carols) mu Bulange.
Minisita w’amawulire ne protocol, Oweek Noah Kiyimba ye Ssentebe wa Buganda Kwe Kwaffe ate Anthony Wamala ye Ssentebe w’akakiiko k’ennyimba z’amazaalibwa.
Omukolo gwa Buganda Kwe Kwaffe ensasula eyimiridde bweti; Abakulu $50, abaana $25, funa ticket yo nga tezinaggwawo.



