97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Crime Preventer asobezza ku mukozi wawaka

Karim Kiryowa 29 nga crime preventer nga mutuuze w’e Bugujju Mukono District akwatiddwa lwakusobya ku muwala wa myaka 18. Kigambibwa nti Kiryowa abadde asaba omuwala ono omukwano wabula nga agaana.

Kigambibwa nti ku Sunday Kiryowa yagenze awaka omuwala ono gy’akola nga omukozi nga mukama we taliiwo namusanga nga ayoza ebintu naddamu namusaba omukwano ono nagaana. Kyeyakoze kumusaba mazzi ag’okunywa bweyamulabye ayingidde mu nnyumba namulumba munda namuvumbagira namusobyako.

Ono akuumirwa ku Poliisi ye Mukono nga bwalinda okutwalibwa mu kkooti.

About Mubiru Ali

Leave a Reply