CP Emilian Kayima mutabi wa Alphonse Ngoboka, yaliko omwogezi wa Uganda Police Force nga mu buto bwe yegomba nnyo okufuuka omulyoyi wemyoyo nga
🚨 CP Emilian Kayima mutabi wa Alphonse Ngoboka, yaliko omwogezi wa Uganda Police Force nga mu buto bwe yegomba nnyo okufuuka omulyoyi w’emyoyo nga yatuuka nokwegatta ku Holy Family Minor Seminary, Bukalasa gyeyasomera O’Level asobole okutuukiriza ekirooto kye, wabula yakyuusa ekirooto kye bweyamala okutuula ebigezo bya S.4 bwatyo neyegomba okufuuka omusomesa naye bamuyite ‘Master’ nga bweyayita nga Abasomesa be.
Ono yegatta ku St. Henry’s College Kitovu gyeyatuulira S.6 era mu luwummula yatandika okusomesa ku Kasubi Secondary School mu 1996.
Mu 1997 yegatta ku Makerere University okusoma Ddiguli ye mu Busomesa ne banne okwali omugenzi AIGP Andrew Felix Kaweesi, Hon. Simeo Nsubuga ne CP Moses Kafeero.
Kayima yasomesaako ku Luteete Secondary School, Sakri Secondary School ne Buloba Secondary School gyeyasomesanga Olulimi Oluganda ne CRE/Divinity. Kayimba yayingira Poliisi mu 2004 nafulumizibwa mu 2005. Muwandiisi wa butabo era ye yawandiika ekitabo: Ttaasa ettaka lyo.
Kiki kyosinga okumujjukirako? Tukusubwa CP

