Pulezidenti Museveni alonze Col. Edith Nakalema okukulira akakiiko akajja

Katikkiro awazezza emyaka 10 ngaweereza Obuganda

Emyaka 10 Katikkiro Charles Peter Mayiga gyamaze ngaweereza Obuganda; “Ensimbi eziyingizibwa mu Ggwanika lya Buganda zeeyongedde. Ettoffaali ly’avaamu obuwumbi 9 ne zikola bbugwe w’Amasiro g’e Kasubi ne Muzibaazaalampanga anaatera okuggwa. Oluwalo olwakavaamu nga obuwumbi 2. 2. Embalirira y’Obwakabaka erinnye n’etuuka ku bitundu 45%. Embalirira y’Obwakabaka erinnye n’etuuka ku bitundu 45%. Entambuza y’ebyensimbi etereezeddwa nga kati […]

Pulezidenti Museveni agenze Burundi

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero asitudde okwolekera ekibuga Bujumbura ekya Burundi gyagenze mu lukiiko olwokwata ku mirembe, ebyokwerinda n’enkolagana wakati w’amawanga agali mu mukago gwa East Africa wamu n’okuzza emirembe mu Democratic Republic of the Congo nga yayitiddwa H.E Évariste Ndayishimiye.

Okwemulugunya kwa Besigye kweyatwala mu UHRC emyaka 7 egiyise bakamuyita okutandika okukuwulira

Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC oluvannyuma lw’emyaka 7 nga Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye ataddeyo okwemulugunya kwe abebyokwerinda bwebasala ekitebe kya Forum for Democratic Change nekaggalira n’abakulembeze b’ekibiina okwali ne Besigye eyali akwatidde ekibiina bendera ku kifo ky’obwa Pulezidenti kamuyise okuwulira okwemulugunya kwe.

Abebyokwerinda musiwuuse nnyo empisa – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ab’ebyokwerinda abaatyobodde eddembe ly’Abakyala ababaka ba Paalamenti. Agambye nti ekikolwa ekyakoleddwa ab’ebyokwerinda okukuba, n’okutulugunya ababaka ba palamenti abakazi, kyabadde kibi nnyo kyoonoona ekifaananyi ky’Eggwanga. Awabudde ebitongole ebikuuma ddembe okukwata abakyala mu ngeri ey’enjawulo singa wabaawo ensonga, okusobola okukuuma ekitiibwa ky’eggwanga, kuba obugunjufu bwalyo bupimibwa ku ngeri gye liyisaamu abakazi.

Minisitule y’Ebyobulamu netegefu okulongoosa mu buweereza

Minsitule y’Ebyobulamu evuddeyo nesiima obubaka bwonna obwaweereddwawo okuyita mu mwoleso gw’ebyobulamu mu Ggwanga ogwakoleddwa ku mitimbagano ogwa #UgandaHealthExhibition. Egumizza Bannayuganda nga bwebagenda okukola obutaweera okulaba nti ensonga ezayogeddwako zikolebwako mu budde okutumbula obuweereza bw’ebyobulamu. Minisitule esabye Bannayuganda okusigala ngabawaayo obubaka nga bayita ku mikutu gyayo emitongole era nesuubiza okutereeza mu budde.

Kitalo! Omuntu omu afiiridde mu kabenje e Mityana

Kitalo! Omuntu omu yafiiridde mu kabenje akawungeezi k’eggulo n’abalala 10 nebabuukawo nebisago ebyamaanyi Takisi mwebabadde batambulira nnamba UBH 141W nga yabadde eva Fort Portal ngeyolekera Kampala bweyayabise omupiira neggwa neyevulungula. Akabenje kagudde ku kyalo Kikumbi, ng’omukyala eyafudde tanategeerekeka kuba teyabadde nakiwandiiko kyonna yadde essimu era nga omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mityana. Kigambibwa nti […]

Njagala kumanya oba nga Ssemateeka awa Pulezidenti okutuma ba Minisita emirimu emirala – Hon. Ssemujju

Hon. Ibrahim Nganda Ssemujju; “Njagala kuzuula oba nga mu kawayiro 113 aka Ssemateeka, Pulezidenti awaabwe obuyinza okutuma Minisita emirimu emirala, olaba Pulezidenti asobola okutuma Minisita okuwerekera abaana be bwebagenda ku bubaga e Kigali oba ku bbiizi e Mombasa. Ekirala Pulezidenti alina abaana abawerako, tewewuunya enkya enkya ngatumye Hon. Ruth Nankabirwa okuwerekera muwala we ku bbiici […]

Abadde avunaanibwa ogwokutta ASP Kirumirwa ayimbuddwa

Kalungi Abubaker; omusibe yekka abadde yasigala nga avunaanibwa omusango gwokutta omusirikale wa Uganda Police Force ASP Muhammad Kirumira ne mukwano gwe Nalinnya ayimbuddwa Kkooti olunaku olwaleero ngegamba nti okunoonyereza Poliisi kweyakola kwali kwakiboggwe nga kuleetawo ebibuuzo bingi kwani yatta Abantu bano 2, era wa weyabattira nalwaki.

Omwoleso gwebyobulamu kukyagenda mu maaso ku twitter

Omwoleso gwebyobulamu ogwokumutimbagano ogwatuumiddwa #ugandahealthexhibition gukyakwajja nga guno gwategekeddwa Dr Jimmy Spire Ssentongo aka Spire Cartoons . Naawe osobola okuteeka wano ekifaananyi ekiraga embeera Eddwaliro lya Gavumenti gyeririmumu kitundu kyo. Wabula wewale okukozesa ekifaananyi ekikadde. Waliwo n’obubaka obutambula obulaga nga abakulira amalwaliro bwebalagiddwa okuyonja amalwaliro, okufaayo okulaba nti abalwadde bafiibwako, abasawo okubaawo mu budde, okwewala […]