Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka SP kananura Michael avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo akabenje akamaanyi akagudde e Namagunga nga kabaddemu tuleela, ttipa ne pickup nekasalako oluguudo lwa Kampala – Jinja. Ategeezezza abagoba b’ebidduka bonna nti emotoka zonna ezidda e Jinja kati ziyita Katosi nga zikyamira Wantoni – Mukono, nga nezidda e Kampala kati zikyamira Njeru.
Omwogezi wa Uganda Police Force ow’ettundutundu ly’e Kigezi Elly Maate avuddeyo nategeeza nga abasirikale ba Poliisi ya Uganda 2 nga bano bakolera ku nsalo ye Katuna mu Disitulikiti y’e Kabale bwebakwatiddwa ababoyinza nga kigambibwa nti babadde benyigira mu bubbi. Maate agamba nti bano kuliko Police Constable (PC) Gracious Tusiime 25, ne PC Zechariah Ekiyankundire 26 kigambibwa nti 1-March waliwo Munnansi wa Rwanda Thomas Habanabakize 38 eyaggya ku nsalo e Katuna ku ludda lwa Uganda okwegulira ku bintu wabula bweyatuuka e Uganda Abasirikale ba Poliisi 2 nebamukwata nti alina ssente enjigirire nebamubbako ssente emitalo 8 n’ekitundu (Rwanda Francs) ezawano gyemitwalo nga 26.
Ono agamba nti oluvannyuma bamuwaliriza okuddayo e Rwanda ngakozesa ekkubo eddala.
Olunaku olwaleero Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende yetabye mu Dua ekulembera omwezi Omutukuvu ogwa Ramadhan ku muzigiti gw’e Kyadondo. Edduwa eno yetabiddwako Omulangira Kasim Nakibinge, Omulangira Khalifan, Supreme Mufti Muhammad Galabuzi n’abalala.
Eyaliko akulira oludda oluvuganya Gavumenti owa Palamenti eye 10 LOP Emeritus Hon. Winnie Kiiza avuddeyo nasambajja ebigambibwa nti yateesa ku kasiimo kobuweereza nga LOP weyawummulira. Ono agamba nti ebintu ebyamuweebwa kwaliko; accolade, diary, calendar n’ensawo era nga bino byaweebwa abo bonna abalina ebifo byobukulembeze mu Palamenti ye 10. Ono agamba nti bintu bino yabifuna mu 2022 ngamaze n’okunyukka ebyokwesimbawo.
Oweek. Twaha Kaawaase Kigongo Omumyuka wa Katikkiro Asooka yaakulembeddemu Abaami ba Kabaka okugenda okutereka Lwomwa Omubuze era awerekeddwako ba Minisita ba Kabaka, Abaami b’Amasaza, Abakungu okuva mu Gavumenti ya wakati, bannaddiini ne bannabyafuzi ab’enjawulo.
Enteekateeka z’okutereka Lwomwa Omubuze Eng. Daniel ziwedde era entaana esimiddwa ya ffuuti 15 ng’omubiri gw’omutaka guzingiddwa mu mbugo ezikunuukirizza mu 200. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ngomujjwa yakulembeddemu okumalawo ebibamba ku mukolo gwokutereka Omubuze Eng. Daniel Bbosa ku butaka e Mbaale mu Mpigi.
Omubaka Twaha Kagabo avuddeyo ku biriwo mu National Unity Platform; “Kino kikakasizza kyenayogerako emabegako nti mu bukulembeze bwa National Unity Platform mujjuddemu katemba. Njagala okwebaza obukulembeze bwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okwoleka nti waliwo ebintu byebasobola okukola nebyebatasobola kuba bwetwali tujja mu bukulembeze twawa Bannayuganda essuubi nti tusobola okutwala obuyinza bwa Uganda.
Kino kituyambye okukakasa nti waliwo abantu abasobola okukola ebintu ebimu ebirala nebabirekera abalala era atulaze nti talina busobozi bukulembera Uganda.”
Eria Lwasi Buzaabo alondeddwa kubwa Lwomwa omukulu w’Ekika ky’Endiga. Ono yabadde Katikkiro wa Lwomwa omubuze Eng. Daniel Bbosa.
Buzaabo ayanjuddwa ewa Katikkiro Charles Peter Mayiga wa Buganda Charles Peter Mayiga, oluvannyuma anaamwanjula ewa Ssaabasajja Kabaka.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Lwomwa omuggya okukumaakuma bazzukulu be, nokukimanya nti Ssaabasajja Kabaka ye Ssaabataka. Katikkiro w’Ekika ky’Endiga, Paul Luyombo Kiyingi yakoze omukolo gwokwanjulira Katikkiro Mayiga Lwomwa omuggya.
Omumyuuka w’Omukulembeze wa National Unity Platform ow’Amasekkati Hon. Mathias Mpuuga Nsamba nayanukula ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ekibiina kya NUP. Ono ategeezezza nti; “Sigenda kuggibwa ku mulamwa gw’abafamire abalina ebigendererwa byabwe abegezaako okubikka ensonga enkulu ku ngeri ekibiina gyekiddukanyizibwamu awatali bwerufu wamu n’okunyigiriza abakulembeze abalala abali mu kibiina.” Ono ategeezezza nti amagezi agamuweereddwa okulekulira ku kifo kya Parliamentary Commission tagenda gagenderako.

