Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 721 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Sipiika wa Kkanso ye Nakawa Godfrey Luyombya Munnakibiina ki National Unity Platform alangiriddwa nga kkansala omulonde owa LC5 obutereevu owa

March 13, 2026 · Radio Simba

🗳️ Sipiika wa Kkanso y’e Nakawa @Godfrey Luyombya Munnakibiina ki @National Unity Platform alangiriddwa nga kkansala omulonde owa LC5 obutereevu owa Nakawa II Division oluvannyuma lw’okulonda okwadiddwamu mu Naguru ne Naguru II, oluvannyuma lw’emivuyo egyaliwo mu kalulu nga 22 January.
Luyombya yalangiriddwa Returning Officer Jennifer Kyobutungi olwaleero nga bukya ku ssaawa musanvu n’eddakiika 20 oluvannyuma lw’essaawa 8 ngokulonda kuwedde.
Wadde ng’abalonzi babadde batono wabula kyatutte essaawa eziwerako ngabagatta ebivudde mu kalulu. Okuddamu okulonda mu Naguru 1 ne Naguru 2 kyava ku mivuyo egyetobeka mu kalulu ku lunaku lwokulonda, Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda kwekuddamu okutegeka akalulu ku kifo kya Kkansala wa Nakawa II.
Oluvannyuma lwokulangirirwa, Luyombya wakutuula ku Lukiiko lwa Kampala Capital City Authority ngakiikirira Nakawa II bwanaaba amaze okulayira.

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug #

Radio Simba News