Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among; “Mu Lukiiko olutudde ettuntu lyaleero wakati w’Abakulembe b’ekitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA okubadde; Executive Director Dorothy Kisaka ne Lord Mayor Erias Lukwago, tutuuse ku nzikiriziganya ku nsonga yobutasula bakozi balongoosa kibuga. Ndi musanyufu okubategeeza nti tusobodde okumaliriza ensonga eno.”
Akulira ekitongole ky’amakomera mu Ggwanga ekya Uganda Prisons Service Johnson Byabashaija, avuddeyo nawagira ekiteeso kyokukyuusa ekkomera ly’e Luzira. Ono agamba nti kiba kyabuvunaanyizibwa okukozesa ettaka lino ekintu ekivaamu ensimbi era ngakiwa abantu abawerako emirimu okusinga okuteekawo ekkomera.
Nickson Agasiirwe ayimbuddwa Kkooti y’Amaggye oluvannyuma lwokumuggyako emisango ye nabalala 2 okuli Hernet Muhangi ne Col. Nduhura Atwooki. Bano babadde bavunaanibwa emisango egyokuyambako n’okuwamba abantu, okuzzaayo Bannansi ba Rwanda ababundabunda ku mpaka wamu n’okuwa Bammemba ba Boda boda 2010 emmundu (okulemererwa okukuuma ebyokulwanyisa).
Akulira Oludda Oluvuganya Gavumenti Joel Ssenyonyi akulembeddemu Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Hon. Betty Ethel Naluyima Wakiso Dist. Woman MP, Hon. Hon Nyeko Derrick wamu ne Munnakibiina kya Democratic Party Uganda Hon. Luttamaguzi Paulson bakyaliddeko ku Mubaka wa Kawempe North Hon. Ssegirinya Muhammad FANS PAGE mu Ddwaliro lya Aga Khan Hospital-Nairobi. Bano bategeezezza nti agenda akuba ku matu.
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo naawa omusajja eyakwata abatta Omukulu w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Bbosa Daniel ekirabo olunaku olwaleero mu State House Entebe. Pulezidenti Museveni awadde Abdul Katabazi omuddaali gwa Nalubaale era namwebaza okubeera omuvumu era yakola obuzira obutagambika. Agambye nti ono naye kati afuuse omulwanyi era neyeyama okuwa aba booda booda abalala abenyigira mu kugoba abatemu obuyambi.
Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Sirina buzibu bwonna na mumyuuka wange Hon. Mathias Mpuuga Nsamba. Namulonda ku kifo kyomumyuuka wange, ekya Leader of the Opposition in Parliament, ne Parliamentary Commissioner. Mukulembeze mulungi era muwa ekitiibwa. Kitwagala akole ekyobugunjufu.”
Uganda Police Force evuddeyo neteekawo obukadde 10 nga buno bwakuweebwa oyo yenna anavaayo nagiwa amawulire aganagiyamba okuzuula Luggya Bbosa Tabula, nga kigambibwa nti ono yeyali emabega w’olukwe lwokutta Lwomwa omubuze Eng. Daniel Bbosa, eyali omukulu w’ekika ky’Endiga eyattibwa ku Sunday, nga 25 February 2024, e Lungujja, mu Lubaga.

