97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Besigye kati avuga kya kusiba kawero kamyufu ku mitwe

Col. Dr. Kizza Besigye eyatandikawo enteekateeka eyakyaka ennyo ey’okutambuza ebigere, kati y’awomye omutwe mu kaweefube w’okusiba akawero akamyufu ku mutwe nga akabonero akalaga okuwakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti ekiwomeddwamu ababaka mu Palamenti aba NRM.

Besigye asinziddde mu maka ge Kasangati n’akunga bannayuganda bonna mu buli kanyomero gyebali okwenyigira mu nteekateeka eno nga buli omu asiba akawero akamyufu ku mutwe , okutambuza ebigere ng’agenda ku mulimu oba ng’akozesa entambula eya bulijjo buli lwakubiri.

Col. Besigye ayongerako nti kino ssi kyakutambuza bigere kyokka, wabula n’okusosola abo abawagira enteekateeka ya Museveni okufuga okutuusa lw’alifa .

About Mubiru Ali

Leave a Reply