Bannakibiina ki National Unity Platform 38 abakwatibwa nga…
Bannakibiina ki National Unity Platform 38 abakwatibwa nga 7-November bwebaali bawerekera ku Pulezidenti wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ku lukungaana e Bwizibwera, mu Disitulikiti y’e Mbarara olwaleero basimbiddwa mu Kkooti y’Omulamuzi owe Mbarara ngekubirizibwa Omulamuzi Andrew Kabombo okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. Bano abamaze kumpi omwezi mulamba ku alimanda bavunaanibwa omusango gwokulemesa DPC wa Mbarara City, SP Kenneth Kabwigo Gumisiriza, okukola emirimu gye.
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026

