Bannakibiina ki Democratic Party DP nga bakulembeddwamu Pulezidenti…
Bannakibiina ki Democratic Party (DP) nga bakulembeddwamu Pulezidenti waakyo era Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ekiramuzi Norbert Mao bakiise Embuga nebawayaamu ne Katikkiro Charles Peter Mayiga ku nsonga ez’enjawulo. Mao awerekeddwako Mukyala we Beatrice Mao, ono nga yesimbyeewo ku kifo Loodi Mmeeya wa Kampala, Ensisinkano eno yeetabiddwamu ne Minisita w’Abagenyi, kabineeti n’ensonga ez’enkizo mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba wamu n’Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Kazibwe Israel Kitooke.
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026

