Akwatidde ekibiina ki National Unity Platform bendera ku kifo kyOmubaka omukyala owa Disitulikit…
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Masaka nemiriraano Twaha Kasirye, kigambibwa nti Matia okukwatibwa kyaddiridde Nyamuhanga eyakwatibwa n’ente enzibe gyebuvuddeko okulumiriza Matia nga bwakuliramu obubbi bw’ente mu kitundu.
Ente zabibbwa Lutunku, mu Gombolola ye Lugusuulu okuliraana ffaamu y’Omukulembeze w’Eggwanga esangibwa e Kisozi mu Gomba.
Kasirye agamba nti ente tebazibba ku ffaamu ya Pulezidenti nti wabula basala olukomera nga baagala bayita mu ffaamu okusobola okutuuka amangu gyebaali balaga.
Nina Roz ye agamba nti Kitaawe si mubbi wabula bamukwatidde nsonga za byabufuzi.
#f

