Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 186 listening Simba FM Live
News

Landlord agadde ekizimbe okuli Eddwaliro lya Medipal lwabutamusasula

May 30, 2023 · Mubiru Ali

Abasirikale ba Kkampuni ya Securex nga bakolera ku biragiro bya landlord Tembo Steels Uganda LTD bakedde kuggalawo ddwaliro lya Medipal International Hospital mu Kampala, nga kigambibwa nti abaddukanya eddwaliro lino babadde tebasasula ssente zabupangisa era nannyini kizimbe kino okuva mu June wa 2022 ng’ensimbi zino zisoba mu kawumbi 1 n’obukadde 800. Abakuumi ba Securex baleseewo omulyango gumu gwokka omuggule gweguba gukozesebwa abasawo n’abalwadde okuyingira n’okufuluma ekifo kino.