97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Ab’e Iganga bazudde emmundu mu mwala

Waliwo emmundu ezuuliddwa nga eri mu mwala mu Munisipaali y’e Iganga.

Emmundu eno ezuuliddwa ya kika kya AK 47 nga ezuuliddwa abantu ababadde bagenda okugogola omwala gw’e Walugongo ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga.

Aduumira Police e Iganga nga ye  Ndita Nasibu agamba nti emmundu eno esangiddwamu amasasi ataano nga eteeberezebwa okuba nga abazigu  gyebabbadde bakozesa okutigomya abantu b’e Iganga, Namutumba, Busembatya n’ebitundu ebiriraanyeewo.

About Mubiru Ali

Leave a Reply