97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Zzaala ssi kkubo lya bugagga – Jajja w’obuyisiraamu

Jjajja w’obuyisiraamu Omulangira Kassim Nakibinge asabye abakulembeze b’eddiini, ab’ennono ne Gavumenti okukola ekisoboka okutangira abantu okwenyigira mu kuzannya zzaala kubanga taliimu kalungi .

Omulangira agamba nti zzaala kati yeetoolodde eggwanga lyonna nga ne mu misoso gy’ebyalo atuuse nga abantu kati batunda ttaka okumuzannya . Akisimbako amannyo nti zzaala ssi kkubo lya muntu okugaggawala .

Okwogera bino abadde mu kukuza olunaku lwa Eid – Al Adha ey’okusalirako ebisolo mu makage e Kibuli gy’agabulidde abayisiraamu .

About Mubiru Ali

Leave a Reply