Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 279 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Ffenna tuwagire Uganda Cranes

October 22, 2018 · Mubiru Ali

Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine: Ndabye mikwano gyange mingi nga gisalawo ekyokukola wakati mu busungu oluvannyuma lw’abakulira ekisaawe ky’e Namboole okusazaamu Concert ya Kyarenga.
Mikwano gyange, sikiriziganya nankola etambulira ku mikutu gya Social Media ey’okuzira omupiira gwa Yuganda Cranes nga bakozesa #boycottugandacranes. Team y’eggwanga eya Yuganda Cranes team ya ggwanga lyaffe gyetulina okwenyumirizaamu n’okuwagira n’amaanyi gaffe gonna. Abavuka bano, nga naffe bwetukola ennyo okulwanirira eggwanga lyaffe nga tukozesa ebitone byaffe nabo bali mu lutalo lwelumu wadde nga tebaweebwa nsako emala. Wadde nga batunyigiriza mu kuyimba, obusungu tuleme kubussa ku balala abatalina musango. Team yaffe ey’eggwanga y’endabirwamu yaffe mu mbeera yonna yadde nnungi oba mbi ffenna nga eggwanga tulina okubaagala ennyo awatali kubanenyeza nsonga yonna. Ffenna tuli Yuganda Cranes era ne Yuganda Cranes yeffe.
Olunaku lwa Concert yaffe ngenda kulabategeeza essaawa yonna.