UPDF byeriko byakulimba – Nicholas Opiyo
Oluvanyuma lwebyo ebizze birabikira mu mawulire nga abasirikale batulugunya abantu, eggye lya UPDF kati libakanye ne kawefube ow’okulaba nga litendeka abasirikale balyo ku nsonga zeddembe ly’obuntu.
Wabula Nicholas Opiyo nga mulwanirizi wa ddembe ly’obuntu agamba bino byonna byabusa nga ekirina okukolebwa kwekulwanyisa omuze gw’okutulugunya nga abakyamu bonna muggye bavunanibwa mu mateeka.


