BREAKING NEWS
MBU: Protected: Zuri Ride: Redefining Personal Transportation – Royal Jeff Ventures Into Taxi Business Observer: Gov’t seeks parliamentary approval for Shs 6 trillion already spent last year MBU: Alien Skin’s dangerous bike stunts worry fans after latest accident Observer: M23 rebels: Entebbe mayor Rulinda loses Shs 273m case against Stanbic bank Pulse Uganda: World Oral Health Day: Unilever campaign targets school children in Kampala, Wakiso Pulse Uganda: Nameere served election petition through newspapers after refusing court notice

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

UNBS eweze Yohanda Juice

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga ekya  Uganda National Bureau of Standards kiweze okufulumya wamu n’okusaasaanya Juice ayitibwa Yohanda akolebwa aba East African Yohanda Company  esangibwa e Kyebando ku nkingiizi za Kamoala lwa butatuukana na mutindo . 

Juice ono ali mu bukopo obwa Pulasitic obwangu okutambula nabwo era akolebwa mu birungo eby’enjawulo omuli Emiyembe, Emicungwa wamu n’ennaanansi, ab’ekitongole kino bangamba nti Juice ono akyusa langi ng’akyali na mumatundiro songa n’ekiseera kw’alina okuggwerako kiba tekinnatuuka ate nga alina n’akabonero k’ekitongole kino kebagamba nti kateekekbwako mu bumenyi bwa mateeka .

Ab’ekitongole kino bagamba nti bakoze ebikwekweto mu bibuga omuli Hoima, Fortpartal ne Kasese era nabateeka envumbo ku kattoni eziwerera  ddala 1089 era ebikwekweto bikyatojjera mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo .

Wabula ab’ekitongole kino basaba buli muntu abeere bulindaala n’okussaako eriiso ejjogi eri oyo anaasangibwa ne Juice ono bamuweeyo akolebweko ng’ obuyinza bwebulagira .

 

 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply