Takisi eyingiridde abasala embalu , 4 bafu 16 bapookya – Kisoga
Abantu bana bafiiriddewo mbulaga ate abalala 16 nebaddusibwa mu ddwaaliro nga biwala ttaka mu mu kakbenje akaguddewo leero mu kalasa mayanzi ku kyalo Bumbajja ekisangibwa ku luguudo mwasa njala oluva e Kisoga okudda e Nkokonjeru
Akabeje kano kavudde ku Takisi nnamba UAR 517 eyingiridde abantu ababadde bazina akadodi mu mukolo gw’okusala embalu .
Akulira Police y’ebidduka mu Mukono Disitulikiti Ssonko Musa akakasizza nti akabenje kano kavudde ku kuvugisa kimama . Kitalo

