Kitalo!
Omusirikale wa
Uganda Police Force e Mbarara kigambibwa avudde mu mbeera nakuba omusirikale wa
UPDF amasasi agamutiddewo.
Kigambibwa nti obutakkaanya bwabwe bubaluseewo nga bali mu Mbarara Police barracks wakati w’omusirikale wa Police Field Force Unit n’omusirikale UPDF.
Eyaliko Omuduumizi wa
Uganda Police Force Gen. Kale Kayihura y’omu ku ba General ba
UPDF abagenda okuwummula omwaka guno. Gen. Kayihura 67, y’omu ku basirikale 10 abagenda okuwummula emirimu gy’eggye ly’eggwanga mu July.
Abalala kuliko; Maj. Gen. Sam Wasswa Mutesasira, Maj. Gen. Arocha Joseph, Brig. Steven Oluka, Brig. Augustine Atwooki, Lt. Col. Juma Seiko n’abalala.
Ennyonyi kika kya Skyvan category fixed wing, eremeredde omugoba waayo neegwa e Kalongo mu Disitulikiti y’e Agago.
Abagoba bagiddwamu nga balamu nebaddusibwa mu Ddwaliro okufuna obujjanjabi. Amyuuka omwogezi w’eggye lya
UPDF Col. Deo Akiiki ategeezezza nti ennyonyi eno siya UPDF.
Aba Famire ya Pte Wilson Sabiiti bakyasobeddwa eka ne mu kibira nga n’okutuusa olwaleero UPDF ekyalemedde omulambo gw’omwana waabwe.
Aba Famire ku Kyalo Mubali, Kajura Town Council mu Disitulikiti y’e Kabarole bagamba nti tebalina kyebaali bafunye kuva eri Gavumenti ku ddi omulambo gw’omwana waabwe lwebanagufuna.
Oliver Musiimenta, mwannyina w’omugenzi agamba nti bakola dda enteekateeka z’okuziika muganda waabwe naye tebamanyi ddi lwebanamuziika.
Basalawo okuzimba entaana ye ku lwokutaano lwa wiiki ewedde era neggwa ku Sunday nti naye n’okutuusa olwaleero tewali kyebaali babagambye.
Omu ku bakulembeze mu Kitundu Eric Sanyu agamba nti entaana yabamalako emitwalo 62 nga zino bazekuŋŋaanyaamu nga abatuuze.
Wabula ye Omwogezi w’eggye lya UPDF UPDF Spokesperson Brig. Gen. Felix Kulayigye agamba nti omulambo gwa Sabiiti bakugusigaza okutuusa nga abakola kukunoonyereza babakirizza okuguwa Famire ye.
Yayongeddeko nti guno gukuumirwa mu Bombo Military Hospital era nti bakimanye nti guno si mulambo gwabulijjo nga bwebalowooza nga balina kulinda kumala kufuna lukusa okuva eri abakola kukunoonyereza.
Wadde nga eyali Omubeezi wa Minisita ow’abakozi Col. Charles Engola yaziikibwa ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ye omukuumi we eyamutta, Pte Wilson Sabiiti tanaziikibwa ng’omulambo gwe eggye lya
UPDF likyagulemedde.
UPDF etegeezezza nga bwekyalina okunoonyereza kw’eriko ku ngeri Sabiiti gyeyafiiramu mu ‘saloon’ kwossa ekyamuviirako okuva mu mbeera n’akuba mukama we amasasi.
Uganda Police mu Disitulikiti y’e Kayunga etandise okunoonyereza ku bubbi obw’emmundu obwakoleddwa mu kiro ku bbalaza kinnya na mpindi ne CPS e Kayunga.
Ayogerera Poliisi mu ttundutundu lya Ssezibwa Hellen Butoto agamba nti obubbi buno bwabaddewo ku sssaawa 3 ez’ekiro ku kitebe kya Disitulikiti y’e Kayunga kumpi n’ekitebe kya Poliisi e Kayunga.
Omu ku babiddwa Aramanzan Sabiiti n’abasuubuzi abalala 34 bagamba nti nti babadde bava mu Katale kamubuulo e Bbaale nga bali ku loole nebaggwa mu loodibulooka eyabaddeko abasajja 4 nga babagalidde emmundu era nga bali mu Yunifoomu y’eggye lya UPDF mu kitoogo ku luguudo lwa Kayunga – Bbaale ababalagidde okwebaka ku ttaka oluvannyuma nebabalagira okubawa ssente zonna zebalina ssaako n’amasimu gaabwe n’ebintu ebirala. Tonny Mabinda nga musawo ku Ddwaliro lya Bbaale Health Centre IV yeyakubiddwa mizibu oluvannyuma lwokubategeeza nti yabadde talina yadde ekikumi.
Abamu ku basuubuzi omusango bagutadde ku Poliisi nga bagamba nti yaluddewo okugenda okubataasa nga yadde bagitegeezezaako mu bwangu so nga n’obubbi webwabadde ziringa mita 400 zokka okuva ku Poliisi.
Abasirikale ba
UPDF abakola n’ekitongole ekivunaanyizibwa kukusolooza omusolo mu Ggwanga ekya
Uganda Revenue Authority (URA) balumiziddwa oluvannyuma lw’abatuuze ababadde babalemesa okubowa piki piki okubakuba amayinja bwebabadde bakola ekikwekweto olweggulo lwaleero
Mutabani w’omugenzi Minisita Engola, Charles Engola Jnr ku lw’abaana b’omugenzi avuddeyo nategeeza; “Kitaffe yatusomesa okusonyiwa. Njagala okutwala omukisa guno okusonyiwa Pte Wilson Sabiiti.” Pte Sabiiti yakuba Minisita Engola amasasi agamuttirawo nga 2-May mu maka ga Minisita e Kisaasi. Okusinziira ku muganda w’omugenzi nga ye Samuel Engola agamba nti muganda we bamusanzeemu amasasi 28 agamukubibwa.
Abasirikale ba Uganda Police Force wamu n’eggye lya UPDF bayiiriddwa ku Ssetendekero e Makerere ng’abayizi bakuba akalulu okulonda Gulid President omuggya wamu n’abakulembeze abalala nga byonna bikoleddwa ku mutimbagano.