Omulwanirizi w’Eddembye lyobuntu @Kakwenza Rukirabashaija wamu ne Ssuuna James Kiggala baddukidde mu Kkooti egonjoola ensonga za Ssemateeka ngabawakanya ekyokusunsula Rtd. Gen. Moses Ali 86, okuvuganya ku kifo ky’Omubaka wa Adjumani West.
Bano bagamba nti okusinziira ku ndabike kyeyoleka lwatu nti mulwadde muyi nga talina busobozi buteesa n’okukiirira abantu obulungi.
Bano bagamba nti okusinziira ku kawaayiro 2 ne 137 mu ssemateeka, ekyokuwandiisa omuntu alabikira ddala nti munafu nga Gen. Moses Ali okukwatira National Resistance Movement – NRM bendera kuba kulinyirira ddembe lya Bannayuganda eryokukiikirirwa wamu n’obukulembeze obulungi.
Bano baagala Gen. Moses Ali, NRM, Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda wamu Attorney General baveeyo bewozeeko.
Bano bagamba nti Moses Ali bweyali akwasibwa empapula ezokusunsulwamu nga 17-June-25, ku kitebe ky’Akakiiko ka NRM, Ssentebe waako Dr. Tanga Odoi yawalirizibwa ogutwalira Gen. Ali empapula mu motoka weyali atudde kuba yali tasobola kwogera yadde okutambula.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026
#ProtectingTheGains
Omubaka wa Pulezidenti mu Masaka City, RCC Ahamada Washaki avuddeyo nakomba kwebaza eriibwa nti kikafuuwe olukungaana lwakwatidde ekibiina ki National Unity Platform ku kifo ky’obwa Pulezidenti, Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine olwokubeerayo na 29-11-2025 bwatajja kulukiriza kubeera ku Liberation Grounds nga Mmeeya Florence Namayanja bweyayogedde, ono agamba nti olukungaana balutegeke e Kako oba mu Sports Arena oba e Kitanga.
#ffemmwemmweffe
#protestvote2026
#PeoplePowerOurPower
#UgandaDecides2026
#AnewUgandaNow
Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi avuddeyo nategeeza nga Bakamisona ba Palamenti 4 okuli; Esther Afoyochan, Mathias Mpuuga Nsamba, Solomon Silwanyi ne Prossy Mbabazi Akampurira bwebazzeemu nebegemulira obukadde 400 ngakasiimo.
Ssenyonyi era asambazze ebibadde bitambuzibwa nti naye yaweereddwa akasiimo nategeeza nti bino byappa bakikozesa okubikka kino ekyabwe.
Ayongeddeko nti zino zayasiddwa mu SACCO okubuzaabuza.
#ffemmwemmweffe
Kitalo!
Monica Nabukenya Kibalama afudde, ono mukyala wa Munnakibiina ki National Unity Platform, JohnBosco Kibalama eyabuzibwawo nga 3-June-2019 abagambibwa okubeera abebyokwerinda.
Kigambibwa nti Monica yasangiddwa mu kinaabiro mu maka ge ngafudde.
Ono wamu n’abaana be bamaze emyaka 6 nga banoonya omuntu waabwe.
#ffemmwemmweffe
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nannyonyola kubyawalirizza Abasirikale baayo okulumba woteeri Omukulembeze wa National Unity Platform, Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine weyasuze nabantu be.
Kituuma ategeezezza nti mu mateeka Poliisi eweebwa obuyinza okuyingira n’okufuluma ekifo kyonna nti nabwekityo bwebaba bayingidde woteeri nga Poliisi nti babadde bakolera mu mateeka.
Ayongeddeko nti bwewabaawo ebintu ebyayonooneddwa ngabayingira ebyo byakutunulwamu oluvannyuma.
#ffemmwemmweffe
Waliwo abagambibwa okubeera abatuuze ba Makindye West 3 okuli; Mukasa Patrick Ssali, Kimera John ne Ndugga Henry abaddukidde mu Kkooti nga bawakanya engeri ekibiina ki National Unity Platform gyekyawaamu Zahara Luyilika kkaadi yokukwatira ekibiina bendera ku kifo ky’Omubaka wa Makindye West.
Zahara avuddeyo bano nabategeeza nti kino tekigenda kumuyigula ttama wakugenda mu maaso nokwewandiisa okuvuganya ku kifo kino.
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026
#ironladyofmakindyewest
#protestvote2026

