Kkiraabu ya Manchester United evuddeyo netegeeza nga bwegobye abadde omutendesi waayo Erik Ten Hag Team.
Erik yalondebwa okubeera maneja wa Kkiraabu eno mu April wa 2022 era ngasobodde okutuusa Man U ku buwanguzi bw’ebikopo 2 okuli ekya Carabao Cup mu 2023 ne FA Cup mu 2024.
Man U emusiimye olwebirungi byebakoledde era nebamwagaliza obuwanguzi mu bulamu obuggya.
Ruud Van Nistelrooy alondeddwa ngomutendesi ow’ekiseera ngayambibwako abantu abalala okutuusa bwebanafuna omutendesi omuggya.
#ffemmwemmweffe
Omubaka wa Palamenti ow’Eggwanga lya Ghanan Isaac Adongo eyavaayo nageraageranya Minisita ku muzibizi wa Manchester United Harry Maguire eyali asamba obubi omwaka oguwedde yavuddeyo namwetondera era namuwaana olw’ensamba ennungi gyayolesa kati.
Maguire akirizza okwetonda kwe nategeeza nti amwesunga okumulabako ku Old Trafford.

