Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu n’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ku misango ekya CID batutte CAO wa Lira Ben Ogwete Otim mu Kkooti evunaana abakenuzi n’abali b’enguzi ku misango gyokukozesa obubi offiisi n’obuli bw’enguzi.
Ono asindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 18-May-2023. Kigambibwa nti ono bweyali mu offiisi ya CAO yagaana okubuulira Olukiiko lwa Disitulikiti ebyali mu bbaluwa eyava ewo Muwandiisi omukulu mu Minisitule y’ebyettaka ngeyimiriza emirimu gy’Akakiiko k’ettaka aka Disitulikiti mu buyinza bw’ekibuga Lira okutuusa nga Gavumenti esazeewo ku ngeri ettaka gyeryalina okugabanyizibwamu. Kino kyaleetera ettaka lya Gavumenti okusigala nga litundibwa mu ngeri eyobufere nga kino kyali kikolebwa abakungu ba Gavumenti nga bekobaana n’Akakiiko k’ettaka.
Emirimu gisanyaladde mu Kibuga Lira oluvannyuma lw’omubiri gw’omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’abakozi, emirimu n’ebyamakolero Col (Rtd) Charles Okello Engola Macodwogo, okutuusibwa mu nnyonyi namukanga ey’eggye lya UPDF eguggye e Kampala enkya yaleero ngesoose kwetoloola kibuga okulaga nti omubiri gw’omwana waabwe gutuusidde ku butaka.
Abasuubuzi abawerako balabiddwako nga baggala amaduuka gaabwe okudduka okugenda ku kisaawe ennyonyi wegudde. Minisita Engola yattibwa omukuumi w’e Pte Wilson Sabiiti nga 2-May-2023.

