Minisitule y’Ebyenjigiriza n’emizannyo yetaaga obwesedde 2 mu obuwumbi 100 okusasulako ekitundu ku nsimbi Uganda zirina okusasula ekibiina ekitwala omupiira ku lukalu lwa Afirika ekya Confederation of African Football – CAF okutegeka ekikopo kya AFCIN 2027, okutandika okuzimba ebisaawe 2 ebirala ebyetaagibwa wabula tewaliiwo nsimbi ku zino ziteekeddwa mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2024/25.
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo Peter Ogwang MP avuddeyo nategeeza nti Uganda erina okutuukiriza obukwakulizzo 6 nga tenakirizibwa kutegeka mpaka za AFCON 2027 nga buno kuliko n’okusasula obukadde bwa ddoola 30 bwebuwumbi 112 ebisale byokutegeka eri Confederation of African Football (CAF) ng’omwezi gwa February 2025 tegunatuuka.
Olunaku olwaleero abakungu okuva mu Kibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) nga bakulemeddwamu FUFA Pulezidenti Eng. Moses Magogo, bano bakulembeddwamu omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa, Minisita w’ebyemizannyo Ogwanga Ogwanga basisinkanye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wamu ne Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha Museveni mu State House Entebe okubayitiramu mu kusaba okwawamu okwa mawanga ga East Africa okuli; Uganda, Kenya ne Tanzania okutegeka AFCON 2027 kyebayise ‘EAC Pamoja bid’.

