97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Poliisi e Hoima yezoobye ne ba Agent ba Nyakato

Poliisi mu kibuga ky’e Hoima ewaliriziddwa okukuba amasasi okusobola okugumbulula abantu ababadde bazinzeeko offiisi z’ebyokulonda. Kigambibwa nti bano babadde ba Agent ba Nyakato Asinansi Munnakibiina kya Forum for Democratic Change nga babadde bagenze okutereeza ensobi ku kkaadi zaabwe zebagenda okukozesa mu bifo awalonderwa okukuuma akalulu nga zibaweebwa akakiiko akavunaanyizibwa ku by’okulonda.
Okusinziira ku Naalongo Hamidah omu ku ba Agent ba Nyakato agamba nti Poliisi egaanye okuwuliriza ensonga zaabwe nesalawo kukozesa maanyi.

About Mubiru Ali

Leave a Reply