Omwogezi wa Poliisi ya Kampala nemiriraano Kawala Racheal avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force e Katwe bwekutte abantu 3 abalabikira mu
🚨 Omwogezi wa Poliisi ya Kampala n’emiriraano Kawala Racheal avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force e Katwe bwekutte abantu 3 abalabikira mu katambi akatambula ku ‘social media’ nga kalaga ekibinja ky’Abavubuka nga abamu bawalampa ekikomera nebatandika okukuba omuvubuka gwebasangamu. Bano bakwatiddwa oluvannyuma lwa Poliisi okutemezebwako n’ekigendererwa ekyokulwanyisa ebibinja by’abavubuka abamenyi b’amateeka mu Divizoni y’e Makindye. Abakwatiddwa kuluko: Sali Ethan aka Unruly, Sali Isaac ne Ssejongo Isaac. Ye eyalabikira mu katambi nga akubwa tamanyiddwa gyali. Poliisi esaba oyo eyalabikira mu katambi nga akubwa okugenda ku Poliisi emuli okumpi asobola okuyamba kukunoonyereza okugenda mu maaso.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

