omuduumizi wa poliisi mumujje mu by’obufuzi – poliisi
Omwogezi wa Poliisi ya Yuganda Fred Enanga avuddeyo n’ekiwandiiko natangaaza ku katambi akasaasanyizibwa ku mikutu egy’enjawulo nga kalaga Omuduumizi wa Poliisi ya Yuganda Martins Okoth Ochola nga anenya abasirikale abatulugunya abavubuka abawagizi ba People Power Our Power ekisinde eky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine.
Enanga agamba nti akatambi kano kasalwako ebitundu ebirala okwoleka nga omuduumizi wa Poliisi bwali mu byobufuzi ekitali kituufu.

