Nuwagira oliira otya mu ssowaani yange – Lt. Turyahabwe

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Lance corporal John Nuwagira yandigobwa mu ggye ly’eggwanga erya UPDF ku bigambibwa nti yasulika enenge mukyala wa mukama we ekimenya etteeka lya UPDF.
Olunaku lw’eggulo abawaabi b’eggye lya UPDF nga bakulemberwamu Lt. Alex Rasto Mukhwana bategeezezza Ssentebe wa Kkooti y’amaggue ettuula e Makindye Brig. Gen. Robert Freeman Mugabe nti Nuwagira yatuula mu kifuba kya mukama we Lt. Robert Turyahabwe bweyadda ku mukazi we Annet Kobusingye namuganza.
Kigambibwa nti mu mwaka gwa 2021 mu nkambi y’amaggye ey’e Makenke esangibwa mu Disitulikiti y’e Mbarara, Nawagira yaganza Kobusingye, Turyahabwe bweyali asindikiddwa e Somalia ku mirimu emitongole.
Nuwagira yegaana emisango ekyawaliriza abawaabi ba Kkooti okugenda mu maaso nokunoonyereza. Nuwagirwa yakwatibwa nga 8-March-2022, oluvannyuma lwa Turyahabwe eyali omuwaabi w’eggye mu kakiiko akakwasisa empisa aka unit disciplinary committee (UDC), okuvaayo namunenya okumukyankalnyiza amaka ono bweyali taliiwo mu 2019.
Omusango gwe gwagibwa mu Kkooti y’ekibinja ekyokubiri ekya UPDF e Makenke neguleetebwa e Kampala olw’ensonga zebyokwerinda. Turyahabwe kati akola nga Munnamateeka (legal officer) wa Masaka Armoured Brigade.
Okunoonyereza kulaga nti Kobusingye yegaana okubeera mukyala wa Turyahabwe nga agamba nti tamwanjulanga mu bakadde be yadde okumukuba embaga.
Share.

Leave A Reply