Okuvuganya ku bwa Sipiika wa Palamenti kunyinyitidde.
Olutalo lwokulwanirira obukubiriza bwa Palamenti ya Yuganda ey’omulundi gwe 10 wakati Kadaga the Oulanya lwongedde okunyinyitira, Oulanya alonze ttiimu ya babaka 23 kuwenja kalulu.
Akakiiko akagenda okuwenja akalulu kakulirwa Ssentebe wa ababaka abava mu Buganda Godfrey Kiwanda.
Olukiiko lwalangiriddwa Ssente Kiwanda ku Serena Hotel mu Kampala nga lufumbekeddemu ba NRM okuva mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo nga luri ku kaweefube wakulaba nti Oulanya alindiggula eri Mukama we Kadaga.
Ttiimu ebimu Margret Kiriisa Mbeiza, Juliet Kinyamatama, Kaliisa Kyomukama, Mulindwa Isaac Ssozi, Ibrahim Abiriga, Micheal Tusiime n’ababaka abalala.

