Nkomawo ku bwannamunigina – Omubaka Kagabo
Omubaka Dr. Twaha Kagabo eyayabulira Ekibiina kya National Unity Platform neyesogga National Resistance Movement – NRM nategeeza nti yalabye ekitangaala wabula mu kamyuufu nazuukukira mu nzikiza nga Hajji Muyanja Mbabaali amuwuzze akalulu, avuddeyo nategeeza nti Abawagizi ba NRM mu Bukoto South mu Disitulikiti y’e Lwengo bamutegeezezza nti alina omulimu gwokwanika obubbi bw’obululu mu kamyuufu nti nabwekityo asazeewo okujja kubwannamunigina era akabonera mupiira nti era bagoba agulina.
Omuganda agamba nti ow’empaka akunama ebiri, katusabe!
#ffemmwemmweffe

