Nga lwaki mwagala ngende?! Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni…
“Nga lwaki mwagala ngende?!” Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo kwabo abamusojja ku luwonzi nga bamubuuza ddi lwagenda.
“Mbabuulira, nti nze mu myaka mitono ngenda mu ggulu, naye mmwe abajja okusigala wano, bwemutazuukuka mugenda kubeera mu mbeera mbi nnyo. Mwogera ku mupiira gw’Abazungu na kiraabu ki ezannya. Nze sisobola kulaba kiraabu ezo. Ku myaka 81, siddangamu kulaba mupiira okuva 1966.
#ffemmwemmweffe

