BREAKING NEWS
MBU: Protected: Zuri Ride: Redefining Personal Transportation – Royal Jeff Ventures Into Taxi Business Observer: Gov’t seeks parliamentary approval for Shs 6 trillion already spent last year MBU: Alien Skin’s dangerous bike stunts worry fans after latest accident Observer: M23 rebels: Entebbe mayor Rulinda loses Shs 273m case against Stanbic bank Pulse Uganda: World Oral Health Day: Unilever campaign targets school children in Kampala, Wakiso Pulse Uganda: Nameere served election petition through newspapers after refusing court notice

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Mutuwe obukuumi obumala; abaana basabye Gavumenti

Marvin Murungi omuyizi ku ssomero lya Dahuga Boys Primary School, Hoima bweyabadde asoma obubaka bw’abaana banne yagambye nti batya okugenda wamu n’okuva ku ssomero nga batya okubawamba.

Era yagambye nti bayizi banne abawala bangi bafumbizibwa bazadde baabwe nga bakyali bato olw;obwavu obukudde ejjembe mu ggwanga.

Yasabye okubawa obukuumi obumala okubataasa ku babawamba bwekiba nti baagala Uganda ekulaakulane.

Agnes Kabonesa okuva e Soroti nga ono y’omu kubaana abafumbizibwa nga bakyali bato yagambye nti bazadde baabwe bangi tebakyayagala kukola nga basuubira nti bajja kubafumbiza bafune ssente.

Violet Nanyonga okuva mu Kisiita Primary School yagambye nti Uganda yetaaga okuwa abaana okufuna omwagaanya basobole okwogera ebibaluma nga mpaawo abakuba ku mukono.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply