Breaking
News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 94 listening Simba FM Live

Mutuwe obukuumi obumala; abaana basabye Gavumenti

June 18, 2018 · Mubiru Ali

Marvin Murungi omuyizi ku ssomero lya Dahuga Boys Primary School, Hoima bweyabadde asoma obubaka bw’abaana banne yagambye nti batya okugenda wamu n’okuva ku ssomero nga batya okubawamba.

Era yagambye nti bayizi banne abawala bangi bafumbizibwa bazadde baabwe nga bakyali bato olw;obwavu obukudde ejjembe mu ggwanga.

Yasabye okubawa obukuumi obumala okubataasa ku babawamba bwekiba nti baagala Uganda ekulaakulane.

Agnes Kabonesa okuva e Soroti nga ono y’omu kubaana abafumbizibwa nga bakyali bato yagambye nti bazadde baabwe bangi tebakyayagala kukola nga basuubira nti bajja kubafumbiza bafune ssente.

Violet Nanyonga okuva mu Kisiita Primary School yagambye nti Uganda yetaaga okuwa abaana okufuna omwagaanya basobole okwogera ebibaluma nga mpaawo abakuba ku mukono.