Mulekerawo okwawulayawula mu mawanga – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Mulekerawo okubuzaabuza Bannayuganda n’ebyamawanga n’eddiini. Bwotandika okwogera ku mawanga obeera mulabe. Amawanga tegajja kutuyamba kugenda mu maaso, tulina kwogera ku East Africa ne Africa.
Abantu abamu balowooza nti okubeera n’ente n’embuzi kibi. Nedda okubeera nazo kirungi kuba ziba zikugema ekiyamba omubiri gwo okulwanyisa enddwadde.”

