Mafabi – Bwemunonda Njakutereeza ebyenfuna by’Eggwanga
Munnakibiina ki Forum for Democratic Change Nathan Nandala Mafabi ayimiriddeko mu Wera Trading Centre, Wera Town Council mu Ditulikiti y’e Amuria nategeeza abaayo nti bwebamulonda wakutereeza ebyenfuna by’Eggwanga ebifafaganye ng’entungo eyiika n’okulaba nti buli omu alina akassente kateeka mu nsawo.

