Kkooti egobye omusango gwa Mabiriizi
Kkooti ejulirwamu, esazizaamu ekiragiro ekyali kiyisiddwa kkooti enkulu, nga kiragira Kabaka wa Buganda okwanja empapula zonna ezikwatagana n’ettaka lya Mailo gavumenti lyeyadiza obwa Kabaka mu 1993.
Kkooti era yali eragidde Kabaka Mutebi okulaga ebikwatagana ku akawunteze mu banka ku ssente zonna Mengo zeze esolooza ku bantu abali ku ttaka.
Kkoti egamba nti Male Mabiriizi yetuminkiriza kuba alemeddwa okulaga abantu abamutuma okuwaaba omusango. Wabula Male Mabiriizi agamba nti agenda kujurira mu High Court.


