Gavaumenti ya Tanzania aliyirire abantu – EAC Parliament
Ababaka mu palamenti y’omukago gwa East Africa baagala Tanzania eriyirire famile z’abantu abaafiridde mu kabenje akabaddewo wiiki ewedde e Mwanza ku Nyanja Victoria- akabenje k’ekidyeri kano kaafiiriddemu abantu 226.


