ebyokwerinda e jinja binywezeddwa
Poliisi enywezezza eby’okwerinda ku nguudo zonna okwetoloola Jinja. Kino kidiridde olukungaana lwa Busoga DP-UYD olwokutabagana olulina okubaayo olwaleero Ku Rugby Grounds e Jinja nga Bannabyabufuzi bangi abasuubirwa okubaayo nga n’omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine naye wakubaayo.

