97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Besigye avunaanibwa gwa kulya munsi ye lukwe

Col Dr Kizza Besigye atwaliddwa mu Kooti e Moroto  naasimbibwa mu maaso g’omulamuzi bw’atyo n’asomerwa omusango gwokulya mu nsi ye olukwe.

Wabula oluvannyuma kwokusomerwa omusango guno asindikiddwa ku alimanda mu kkomera ekkulu e Moroto gyaliva okuddamu okulabikako mu kooti  nga ennaku zomwezi 26 omwezi guno ogwokutaano.

Besigye yakwatibwa olunaku olwakukembera okulayizibwa kwa Museveni e Kololo okwaliwo nga nga 12. 05. 2016  oluvanyuma lwokukuba Police ekimmooni n’ayingira mu kibuga wakati songa yali akuumirwa butiribiri mu makage e Kasangati. Okuggya kwa Besigye mu Kampala kwaleeta akasattiro era okukkakkana nga omukka ogubalagala n’emboko mu Kampala be baana baliwo era Besigye Police n’emuyoola n’emussa mu nnyonyi ekiwejjowejjo Moroto. 

About Mubiru Ali

Leave a Reply