97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Batutwalako ekibiina kya kyaffe – Moses Kibalama

Abatandikawo ekibiina kya National Unity, Reconciliation and Development Party (NURP); oluvannyuma ekyafuuka National Unity Platform – NUP bavuddeyo nebakukuluma nti tebatekebwa mukuddukanya emirimu gy’ekibiina ekiggya.
Bano baddukidde mu Kkooti ejulirwamu nga baagala ebayambe okuzuula oba nga ekibiina kya NUP kyawandiikibwa mu mateeka Ababaka baakyo okusobola okubeera mu Palamenti.
Bano kuliko; Moses Kibalama, Basile Difas ne Twala Hassana.
Munnamateeka waabwe James Byabakama agamba nti Omulamuzi wa Kkooti Enkulu teyafaayo ku nsonga zaabwe kuba bebaali Bannanyini kibiina era balina okwenyigira mu mirimu gyekibiina.

About Mubiru Ali

Leave a Reply