97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Babiri bakwatiddwa lwakutema nnamba ku motoka

Sulaiman Ssentamu ne Brian Muyanja baakwatiddwa Poliisi olunaku lw’eggulo lwakutema nnamba ku motoka z’abantu oluvannyuma nebabasaba ssente. Bano bakwatiddwa ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obubbi obw’emmundu ekya Flying Squad nga kati bakuumirwa ku Poliisi ya Central Police Station e Masaka.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Greater Masaka Lameck Kigozi agamba nti bano abakwatiddwa bakolaganye bulungi ne Poliisi nga bagiwa obujjulizi obwayambye okuzuula nnamba za motoka munaana. Kigambibwa nti bano babadde bakolera mu bitundu by’e Lyantonde, Kyazanga, Mbiriizi, Kiwangala wamu ne Masaka Municipality.

About Mubiru Ali

Leave a Reply