97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Akanyoolagano mu Kampala

Police esiibye mu kanyoolagana n’abawagizi ba FDC mu kibuga Kampala okuva enkya ya leero kumpi kutuusa kawunggezi .

Omukka ogubalagala wamu n’amasasi binyoose mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo era emirimu gisannyaladde  olunaku lulamba .

okwekalakaasa kuno kutegekeddwa aba FDC nga bawakanya okulayira kwa Pulezidenti Museveni okutegekeddwa okubaawo nga 12 / 05 / 2016 mu kisaawe e Kololo . Aba FDC bakalambira nti wasaana wateekebwewo ekitongole ekyetongodde  kidddemu okusunsula n’okwekennenya akalulu engeri gyekaabalwamu .

Wabula obudde webukeeredde leero nga Police eyiiriddwa mu maka g’abamu ku bakulira ekibiina kya FDC omuli Dr . Kizza Besigye, Ibrahim Ssemuju, Ingrid Turinawe wamu ne Erias Lukwago nga mwotwalidde n’ekitebe kya FDC e Najjanankumbi .

About Mubiru Ali

Leave a Reply