BREAKING NEWS
MBU: Protected: Zuri Ride: Redefining Personal Transportation – Royal Jeff Ventures Into Taxi Business Observer: Gov’t seeks parliamentary approval for Shs 6 trillion already spent last year MBU: Alien Skin’s dangerous bike stunts worry fans after latest accident Observer: M23 rebels: Entebbe mayor Rulinda loses Shs 273m case against Stanbic bank Pulse Uganda: World Oral Health Day: Unilever campaign targets school children in Kampala, Wakiso Pulse Uganda: Nameere served election petition through newspapers after refusing court notice

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Abavuganya ku kya Vice Chancellor wa Makerere Yunivasite basumuludde entanda

Abantu basatu abaasunsulwamu okuvuganya ku kifo kya Vice Chancellor ku ttendekero ekkulu ery’e Makerere balabiseeko eri abantu nga buli omu ayanja ensonga ze lwaki agamba nti yaasaanira okulya ekifo kino. 
Abavuganya mulimu Kakensa Edward Kirumira nga ono y’akulira ekitongole ekisomesa ensonga za Humanities and Social Sciences,  Kakensa Barnabas Nawangwe nga ono ye Deputy  Vice Chancellor avunaanyiziba ku nsonga z’ebyensimbi ate ne Kakensa Venacious Baryamureeba nga ono yali Vice Chancellor ku ttendekero ekkulu e Makerere.
Bonsatule bano buli omu aliko waasimbye essira,  nga Kakensa Edward Kirumira yeeyamye okukola ennyo okutereeza okusoomooza kw’ebyenfuna awamu n’okwongera okutumbula ebyenjigiriza. Ate ye Kakensa Nawangwe yeerayiridde okuteeka essira mu kukozesa ettaka ly’ettendekero naddala eryo eritakozesebwa lisobole okuvaamu ensimbi eziddukanya ettendekero songa ate Kakensa Venacious Baryamureeba n’ategeeza nti ye ku bayizi okukozesa ebyuma bi kalimagezi kw’agenda okusinga okuteeka omulaka.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply