97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Abaakubidwa amasasi e Jinja bataawa

Abasawo mu ddwaliro e Jinja bagamba nti abantu abakubiddwa amasasi omujaasi wa UPDF okuva mu nkambi y’amagye eya Gadhafi bali mu mbeera mbi ddala.

Ajuna Micheal Steven myaka 34 abadde ku ddaala lya Private bweyamaze okukuba abantu bano abana naye neyeekuba amasasi naafiirawo ku bbaala emu mu Kimaka ku nkungirizi z’ekibuga Jinja.

Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omujaasi ono yanonye emmunduye  mu nkambi y’amagye oluvannyuma lw’okusanga mu bbaala eyali muganzi we eyamulya ssente n’amubulako nga abadde amaze ebbanga ng’amunoonya.

Mu bakubiddwa amasasi mulimu : Grace Nakimuli , Frank Kitamirike – nga ono essasi lyamuyise mu bulago , Nalubega nga ono gamuyise mu lubuto n’omulala omu.

 

About Mubiru Ali

Leave a Reply