Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 143 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Abaakubidwa amasasi e Jinja bataawa

June 30, 2016 · Mubiru Ali

Abasawo mu ddwaliro e Jinja bagamba nti abantu abakubiddwa amasasi omujaasi wa UPDF okuva mu nkambi y’amagye eya Gadhafi bali mu mbeera mbi ddala.

Ajuna Micheal Steven myaka 34 abadde ku ddaala lya Private bweyamaze okukuba abantu bano abana naye neyeekuba amasasi naafiirawo ku bbaala emu mu Kimaka ku nkungirizi z’ekibuga Jinja.

Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omujaasi ono yanonye emmunduye ย mu nkambi y’amagye oluvannyuma lw’okusanga mu bbaala eyali muganzi we eyamulya ssente n’amubulako nga abadde amaze ebbanga ng’amunoonya.

Mu bakubiddwa amasasi mulimu : Grace Nakimuli , Frank Kitamirike – nga ono essasi lyamuyise mu bulago , Nalubega nga ono gamuyise mu lubuto n’omulala omu.