Aba Taxify baagala kusasulwa
Poliisi ya Kira Road eyitiddwa bukubirire okukakkanya embeera ku kitebe kya Boda Boda ekya Taxify oluvannyuma lwa ba Boda Boda abagikolera okuva mu mbeera nga balumiriza abakulira kkampuni eno obutabasasula ssente zaabwe.
Abamu kuba Boda Boda okuva mu mbeera kiddiridde okutuuka ku kitebe kino nga baze okusasulwa ssente zaabwe kyokka abaddukanya kampuni eno ne basalawo okubagoba nga tebabawadde nsonga yonna.


