Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 253 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Zzaabu azaalidde Kulayigye eminyira

August 25, 2016 · Mubiru Ali

Col Felix Kulayigye omubaka ow’eggye lya UPDF mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga,  ayimiriziddwako ku mirimu egy’obuvunaanyizibwa egikwatagana n’okulungamya eby’amagye mu ggye lino, wamale okubaawo okubuuliriza ku nsonga ezikwatagana n’ebyekisuubuzi ne zzaabu.

Omwogezi w’amagye Paddy Ankunda yakakasizza bino ng’ayita ku mukutu ogwa Twitter era n’agamba nti okuyimirizibwa kwe asigadde akyali mubaka wa magye mu Palamenti naye ensonga z’okubuuliriza zigenda mu maaso.

Kulayigye kigambibwa nti aliko Zzaabu gweyeekomya owa omu ku basuubuzi banne gwebaali bakola naye sinakindi n’abamu ku bakozi ba munne ono nebateekebwa mu nkomyo.