Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 221 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Zinedine Zidane alekulidde obutendisi bwa Real Madrid: ‘Team yetaaga eddoboozi ly’omuntu omulala’

May 31, 2018 · Mubiru Ali

Zinedine Zidane asazeewo okulekulira obutendisi bwa Club ya Real Madrid oluvannyuma lw’okutuusa Club eno ku buwanguzi bwa Champions League emyaka esatu egy’omudiringanwa.

Zidane agamba nti tekubadde kusalawo kwangu olekulira. Agambye nti kiyinza okuwulikika eky’obulalu naye abadde alina okukikola ku lw’obulungi bwabuli omu, abazanyi, Club naye. Team erina okusigala nga ewangula ebikopo era nga yetaaga okukyuusa obukulembeze oluvannyuma lw’emyaka esatu.

Zidane yafuuka Omutendisi wa Real Madrid oluvannyuma lw’okugobwa kwa Rafa Benitez mu January 2016 era nga awangulidde Real Madrid ebikopo bya Champions League emirundi esatu egy’omudiringanwa ne kya la liga kimu mu 2016-17.