Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 387 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Ziggy Wine yafudde bisago by’akabenje – Enanga

August 6, 2019 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Alinda Micheal aka Ziggy Wine omuwagizi wa People Power – Uganda ekisinde ky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nti teyatulugunyizibwa wabula 21- July 2019 ku ssaawa 7:30pm yatomera omusomesa wa Nursery Atwolo Roy 24 eyali ava okusoma nga adda awaka mu Mulimira Zone. Ziggy Wine Piki Piki yamukuba nagwa mu mwala ne Piki Piki ye nemugoberera bweyali agezaako okusala ekubo okudda mu Kisalosalo.
Bombi bagibwawo abazira kisa nebatwalibwa mu kalwaliro ka Hope Clinic nebaweebwa obujanjabi obusookerwako nebaweebwa obujanjabi omusawo Kule Simon Ahebwa 24.