Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 229 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Zebra yagezezaako okulwana n’amaggye negamutta – Pulezidenti Museveni

December 31, 2020 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni;”Okusooka twawulira nti Zebra Ssenyange Mando abavubuka beyatendeka ebikonde baali bagenda kukozesa okukuba abalala. Abadde muwagizi wa National Resistance Movement – NRM, wabula wabaddewo abavubuka abamu beyatedeka abakozesebwa mu lutalo lwa ppaaka e Bwaise. Kino kyekyaleetera abasirikale baffe abakugu okugendayo boogereko naye, bagenda ewuwe nebakonkona abantu nebagaana okuggulawo, Zebra yaliwo mu ddiiro wabula naddukawo. Abasirikale bano baaliwo mu bibinja ebiwerako, era mu kudduka yaggwa mu kibinja ekirala. Bagamba bagezaako okumuyimiriza wabula nayagala okulwana nabo nebamukuba amasasi 2 agamuttirawo. Tugenda kunoonyereza ddala ekyabaddewo. Okusooka nalowoozezza nti bano abawagirwa abagwira bebabbye ebyambalo bya Poliisi.”